Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kabulengwa e Kyebando mu munisipali ye Nansana omwana eyabula sabiti ewedde bw’asangiddwa nga yattiddwa.

Omwana Rema Nanyunja, mwaka gumu n’ekitundu, omulambo gwe, gusangiddwa mu kiyumba ekitanaggwa.

Okusinzira ku nnyina Nawuza Birungi nga mutuuze ku Yesu Amala e Nansana, waliwo omukyala eyali yasaba omwana, okumutwala eri muganzi we, okumulimbalimba nga bwe yali yamuzaalira omwana kyokka olwagaana wayita ennaku ntono, omwana we natwalibwa.

Maama azirise, bw’akitegedde nti muwala we, yattiddwa.

Omu ku baneyiba, abaludde nga benyigidde mu kunoonya omwana, wakati mu kulukusa amaziga, ayogeddeko naffe.

Eddoboozi lya Mutuuze

Omulambo, gugiddwawo Poliisi era gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Wabula tukitegeddeko nti omukyala, eyali yasaba omwana okumutwala eri muganzi we, okulimba nti yazaala, Poliisi yamukutte.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti omukyala akirizza eky’okusaba omwana kyokka eby’okutta omwana, tabiriimu mukono.

Eddoboozi lya Luke