Kyaddaki omukyala Nakakande Miria, omutuuze ku kyalo Nakarada mu ggoombolola y’e Kayunga era mu disitulikiti y’e Kayunga ayogedde amazima ku kyamusindikiriza okutta omwana we.

Nakakande yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu Poliisi y’e Kayunga, oluvanyuma lw’okuzaala omwana omuwala namusuula mu kabuyonjo era nafiiramu.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Nakakande  agambye nti olwazadde, kwe kutegeeza bba wabula omusajja olwatuuse, nakuba eriiso ku mwana azaaliddwa, yamwegaanye era amangu ddala yamulangidde obwenzi n’okumulagira obutadda makaage.

Olw’obusungu, yakutte omwana namusuula mu kabuyonjo ya muganda we era Poliisi weyatuukidde, nga yamaze dda okufa.

Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti omwana eyafudde bageenda kumuggyako ndaga butonde era singa kinazuulibwa nti omusajja eyegaanye omwana yamuzaala, wakuvunaanibwa emisango gy’okuviirako omukyala okutta omwana waabwe.

Eddoboozi lya Enanga