Munnamaggye eyakubiddwa akatayimbwa ku mutwe mu disitulikiti y’e Mubende afiiridde mu ddwaaliro ekkulu e Mubende, emisana ga leero.

Corporal Geoffrey Turyahabwe yagudde mu batemu bwe yabadde agenda ku mirimu gye ku Ssande ekiro era yakubiddwa akatayimbwa, emmundu ye ne bagitwala.

Omugenzi Turyahabwe abadde akolera ku kitebe kya CMI e Mubende era okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala Rachael Kawala, emmundu eyatwaliddwa yazuuliddwa mu disitulikiti y’e Kakumiro wabula abatemu, bakyaliira ku nsiko.

Mungeri y’emu alabudde abantu babulijjo okuwa ebitongole ebikuuma ddembe ekitiibwa n’abasirikale bonna, okusinga okulowooza okubatusaako obulabe.

Eddoboozi lya Kawala