Owa bodaboda Robert Ssenyonga myaka 27 atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okukubwa ekigala ky’emmundu abasirikale ba LDU.

Ssenyonga abadde ku bodaboda namba UDV 455N ku kyalo Kilyowa mu Monisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ng’atise omusabaze ku Pikipiki aba LDU ne bamulagira okuyimirira nagaana.

Owa  LDU amukubye ekigala ky’emmundu ku mutwe era agudde wansi ng’awunze ne bamulekaawo ng’ataawa ssaako n’ okulukuta omusaayi ng’omutwe bagwasizza.

Oluvanyuma, ayambiddwa abatuuze ne bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Jinja era omu ku batuuze Nool Nankumba agamba nti okumutwala mu ddwaaliro, babadde balowooza afudde.

Eddoboozi lya Nankumba

Omusawo ku ddwaaliro e Jinja awatuukirwa abali mu mbeera embi, Charles Etilu agambye nti Ssenyonga atuusiddwa ng’ali mu mbeera mbi wabula basobodde okuyamba, okukendeza omusaayi okulukuta n’okufuna obujjanjabi obusookerwako.

Hellen Butoto, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa, akakasizza ekya Ssenyonga okukubwa wabula agaanye okulambulula ebisingawo.