Aba saluuni mu ggwanga n’abakola masaagi abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Salons and Spas in Uganda, bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubakkiriza okuddamu okutambuza emirimu gyabwe.

Banno, baddukidde eri sipiika wa Palamenti nga bakulembeddwamu ssentebbe wabwe Abdul Kareem Mucunguzi era mu kiwandiiko kyabwe ssaako ne vidiyo, balambuludde engeri gye bagenda okuteeka mu nkola engeri zonna, ez’okwetangira Covid-19 okusasaana singa bakkirizibwa okuddamu okutambuza emirimu.

Mu kusaba okubaggula, bagamba nti Saluuni baludde nga bayonjo, omuli okunaaba mu ngalo ne ssabuuni, okweyambisa ebyuma okutta obuwuka ssaako ne butawulo era singa bakkirizibwa, baakutekawo n’embeera ey’okutangira omujjuzo.

Ate omwogezi wabwe Christine Nakasigwa agamba nti aba saluuni n’abakola Masaagi bakunukirizza obukadde 2 era bangi mu kiseera kino bali mu mbeera mbi olw’obutakola.

Agamba, Gavumenti yandibadde ebalambika ku ntambuza y’emirimu n’okwetangira obulwadde okusinga okubalemesa okudda ku mirimu.

Ate Robert Ahimbisibwe omu ku basaluuni abagenze ku Palamenti agambye nti mu vidiyo gye bakwasizza sipiika, balaze buli kimu ku ngeri y’okwetangira Covid-19 okusasaana.

Agamba nti embeera sinungi, ekibasindikirizza okuddukira eri Palamenti, okuyambibwa ssaako n’okutaasibwa okudda ku mirimu.

Ku nsonga ezo, sipiika Rebecca Kadaga abaanukudde era asuubizza ensonga zaabwe okuteesebwako mu Palamenti ssaako n’okujanjulira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni.

Kadaga agamba nti Gavumenti ekoze kyamaanyi okuyambako abantu okuyiga emirimu gy’omutwe omuli okubayigiriza okusiba enviri, era ekigenda mu maaso mu ggwanga nayo kigikwatako butereevu.

Mu kiseera kino abasaluuni balinze Sipiika Kadaga okubawa amawulire okuva eri Pulezidenti Museveni.

Eddoboozi lya Kadaga