Poliisi eri mu kunoonya munnansi wa Rwanda ku misango gy’okutta mukyala we ku kyalo Njagazi mu ggombolola y’e Bugonzi mu disitulikiti y’e Mubende.

Mugisha Fred yanoonyezebwa ku misango gy’okutemula Kabiite we Kamanyiresi Juliene nga naye munnansi wa Rwanda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Mugisha okuggya mu Uganda yaggya ne mukyala we kyokka olw’obutakaanya wakati waabwe, omusajja yasse omukyala.

Enanga agamba nti Mugisha anoonyezebwa ku misango gy’obutemu.

Wabula kigambibwa omukyala abadde yafunye omusajja munnayuganda, ekyatabudde omusajja okumutta.

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti omukyala abadde alina abalenzi ab’enjawulo olwa bba okwebuzabuza mu nsonga z’omu kisenge era ekiteeberezebwa, y’emu ku nsonga lwaki yattiddwa.

Eddoboozi lya Enanga