Poliisi y’e Masindi ekutte omusajja myaka 25 ku misango gy’okusobya ku baana abato 3 wakati w’emyaka 2 kwe 4.

Omukwate ategerekese nga Aleka nga yakutte abaana 3 ng’asinzira mu nnyumba ye mu katawuni k’e Kibamba mu ggombolola y’e Pakanyi sabiti ewedde ku Ssande.

Abaana baatasiddwa omu ku batuuze eyabadde ayita okumpi n’ennyumba eyawulidde emiranga era abatuuze webaatukidde ku nnyumba ng’abaana, bakulukuta musaayi mu bitundu by’ekyama.

Aleka yadduse wabula abatuuze baamukutte nga yekwese ne bamukuba era  yataasiddwa poliisi era bamutwala ku kitebe kya Poliisi e Masindi ng’ali mu mbeera mbi.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, agamba nti Aleka bakumutwala mu kkooti ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Okusinzira ku ssemateeka wa Uganda, emisango singa gimusinga, Aleka ayolekedde okuwanikibwa kalaba.