Aba LDU bakutte abantu 4 ku 6 abaasangiddwa nga basima ekisenge okubba mu Monisipaali y’e Nansana ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, ekikesezza leero.

Ababbi, basangiddwa ku nnyumba ya Musoke William nga basima okuyingira mu Zzooni ya Nansana East 11 B, era 4 bakwattiddwa ate 2 basobodde okudduka.

Maj. Bilal Katamba
Maj. Bilal Katamba

Okusinzira ku Maj. Bilal Katamba, omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekisooka ate nga ye mwogezi wa LDU, 4 abakwattiddwa kuliko Ssempijja Rishard, Mutyaba Yasin, Kwenda Alex ne Kakooza Baker.

Maj. Katamba agamba nti abakwattiddwa, batwaliddwa ku Poliisi y’e Nansana, kwe kulabula abantu okwongera okuwa ekitiibwa essaawa za Kafyu, okwanguyizza ebitongole byokwerinda okuzuula abantu abakyamu.

Eddoboozi lya Katamba