Gavumenti ettadde ssente obukadde 560 mu konsituwensi y’e Kyadondo East ekiikirirwa omubaka Robert Kyagulanyi amanyikiddwa nga Bobi Wine okuyambako mu kulwanyisa obwavu.

Mu kutongoza enkola empya ey’okuyamba abantu, ‘Emyooga initiative’ ku kitebe kya Tawuni Kanso e Kasangati, Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo, era omubaka wa Palamenti owa Kyotera agambye nti ssente zigenda kuwebwa ebibiina 18 ebya Sacco.

Minisita Haruna Kasolo
Minisita Haruna Kasolo

Minisita Kasolo agamba nti buli Sacco egeenda kuweebwa obukadde 30 wabula omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde Sacco z’abakulembeze abalondeddwa okuweebwa obukadde 50 buli emu, okuweza omugatte gwa bukadde 560.

Minisita Kasolo asambaze ebigambo ebyogerwa nti ali mu Kampeyini za Pulezidenti Museveni eza kalulu ka 2021, agamba nti okuwa abantu ssente okufuna entandikwa, y’emu ku pulogulamu za Gavumenti okuyamba abantu mu ggwanga abalina Sacco.

2021, Bobi Wine agamba nti agenda kwesimbawo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga okuvuganya Pulezidenti Museveni era abantu be Kyadondo East balina okulonda omubaka wa Palamenti omulala.

Gavumenti okuvaayo okuyamba abalonzi be Kyadondo East, kiyinza okugiyamba 2021 okuwangula konsituwensi.