Poliisi etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku musajja eyakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku baana abato 3.

Omusajja Okura Alex myaka 24 yasobezza ku baana basatu (3) okuli babiri myaka 3 n’omulala myaka 5 ku kyalo Kibamba mu ggoombolola y’e  Pakanyi mu disitulikiti y’e Masindi.

Abaana yabasobyako sabiti ewedde ku Ssande nga 5, omwezi guno Ogwomusanvu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Okura abadde mukwano gwa Famire era yabadde agenze kukyalira musajja, taata w’abaana kwekusanga ng’omusajja n’omukyala bagenze mu nimiro.

Enanga agamba nti Okura yasobodde okweyambisa omukisa ogwo, okutwala abaana mu nnyumba okubasobyako era bonna yabalese batonnya musaayi.

Oluvanyuma yadduse olw’okutya abatuuze okumutusaako obulabe ng’ayita mu ssamba ly’ebikajjo wabula yakwattiddwa era Poliisi weyatuukidde  ng’abatuuze bagenda okumutta.

Enanga agamba nti Okura ali mu ddwaaliro e Masindi mu mikono gya Poliisi ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Eddoboozi lya Enanga