Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) aleese emekete y’omukyala omu ku bannamateeka be mu kisinde kya People Power Shamim Malende okuvuganya ku ky’omubaka omukyala owa Kampala mu kulonda kwa 2021.

Malende agamba nti obuyinza buli mu bantu, era avuddeyo okugenda mu Palamenti okuyamba abantu ab’enjawulo n’okusingira ddala abanyigirizibwa mu nsonga z’amateeka.

Malende okuvaayo, kiraga nti amaliridde okuvuganya eyali omusomesa ku yunivaasite y’e Makerere munna FDC Dr. Stella Nyanzi n’omubaka wa Palamenti ali mu ntebe mu kiseera kino Nabirah Ssempala.