Nga wasigadde ennaku 111 zokka okusunsulamu abantu abanaavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2021 kutuuke okusinziira ku nambika y’akakiiko k’ebyokulonda, nate abantu abegwanyiza Entebe beyongedde obungi.

Mu kiseera kino abantu abegwanyiza okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga basoba mu 50 wabula nga buli omu awera nti ketonnye ka gwake obukulembeze bumuli mu ttaano mu 2021

Mu bano mwemuli omukyala eyasookera ddala okulangirira nti agenda kuvuganya ku bwa pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa bonna okwa 2021, Darlen Kamusime Kawawa. agamba nti ky’ekiseera abakyala nabo bakwate ku nkasi y’eggwanga.

Darlen Kamusime Kawawa
Darlen Kamusime Kawawa

Kamusime  agamba nti ky’ekiseera abakyala nabo bakwate ku nkasi y’eggwanga okutambuza emirimu.

Kamusime agamba nti ye ssaawa abakyala okulaga nti balina obusoobozi ku buli nsonga yonna era singa akwata obuyinza, agenda kukyusa Uganda okwesiimisa buli muntu.

Ebigambo bya Kamusime biraga nti avuddeyo okulemesa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine entebe y’obwa Pulezidenti kuba naye agamba nti ye muntu omutuufu agwanidde okudda mu bigere bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.