Akeedi 35 mu Kampala zakusigala nga nzigala olwa bannanyini zo, okulemwa okutuukiriza ebyetagisa, ebiyinza okuyambako, mu kutangira Covid-19 okusasaana.

Okusinzira kakiiko, akali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19 mwa Akeedi, ebizimbe ebimu tezirina kabuyonjo zimala, kabuyonjo ezimu tezikola bulungi, ebimu tebirina madirisa wadde akamooli okuyingiza empewo, tebalina wakuteeka bikyafu, ssaako n’emilyango emirala abasuubuzi mu kuyingira n’okufuluma.

Ebimu ku bizimbe ebinokoddwayo okusigala nga biggale kuliko Katikati Complex, Park Nkadde Mall, JBK Plaza, Namaganda Plaza, Gaza Land, Royal Complex, Zibula Atudde, Printers House, Kalungi Plaza, Nasser Road Mall n’ebirala.

Akakiiko, kalaze nti Akeedi 48 zatuukirizza ebyetaagisa mu kulwanyisa Covid-19 era essaawa yonna omukulembeze w’eggwanga, agenda kuziggula.

Ezimu kwa Akeedi kuliko Ham Shopping Mall, Capital Centre, Mukwano Akeedi,  Arua Park Plaza, Mega Plaza, Sekaziga House, KK Trust, Kiseka Auto Centre n’endala.

Mu nsisinkano ebadde ku Offiisi ya Ssaabaminisita mu Kampala, Minisita wa Kampala Betty Amongi, Minisita ow’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde basisinkanyeko bannanyini bizimbe era basabiddwa okusigala nga bakakamu nnyo.

Abakulembeze mu Kampala okuvaayo ssaako ne Minisita Kyambadde, kidiridde vvawompitewo mu kibuga Kampala wakati wa Poliisi n’abasuubuzi abakolera mu akeedi ababadde bakedde mukibuga okuggula amaduuka gaabwe kumpaka nga bagamba nti bakooye omuggalo.

Bangi bakwatiddwa era poliisi awamu awaliriziddwa n’okuwandagaza amasasi mu bbanga okukakkanya abasuubuzi.