Poliisi y’e Luweero, ekyasobeddwa ku abaana abawala abato, abaddukira ku Poliisi okubayamba okunoonya abasajja, abaabatikka embuto.
Abawala abetaaga obuyambi nga baasobezebwako bali wakati w’emyaka 14-17 okuva mu ggoombolola okuli Kamira, Bamunanika, Wobulenzi, Luweero ne Makulubita nga kivudde ku basajja okudduka mu kiseera kino eky’omuggalo ogwa Covid-19.
Ku bawala 28, 7 bebakazaala ate 21 bakyali mbuto nga n’abamu basemberedde okuzaala.
Ku Poliisi, abawala kyebetaaga, kwekunoonya abasajja okubawa obuyambi wabula si kubakwata ku misango gy’okubasobyako.
Omu ku baana ali mu gy’obukulu 15, nga yakazaala abalongo, agambye nti omusajja yadduse olw’okubanjibwa ssente z’okupangisa ennyumba era mu kiseera kino ayimiriddewo ku bazira kisa.

Omuwala ku myaka 15

Omuwala omulala ali gy’obukulu 16 ng’asemberedde okuzaala agamba nti omusajja yadduse nga ssente zimuweddeko.
Omuwala agamba nti kitaawe yaffa, nnyina yamugobye okuddayo eri bba nga naye embeera sinungi ate nga omusajja yamusaanga aliko amaka gy’akola ng’omukozi w’awaka.

Omuwala ku myaka 16

Ku lwa Poliisi, Joyce Namigadde akulira ensonga z’amaka ku Poliisi y’e Luweero, agambye nti basobeddwa olw’abaana abawala abaasobezebwako okulemesa Poliisi okunoonya abasajja okubakwata nga kyebetaaga kufuna buyambi.
Eddoboozi lya Namigadde