Bya Nalule Aminah

Poliisi y’e Kira ekutte omukyala Macklin Kemigisha ku misango gy’okwokya abaana be n’amazzi agookya.

Kemigisha nga mutuuze ku kyalo Kifumbiira e Kamwokya, yakwattiddwa ku misango gy’okwokya abaana be n’amazzi agookya ng’abalanga okubba sukaali buli lunnaku.

Abaana abayokeddwa, kuliko omulenzi myaka 7 n’omuwala 10 era bataasiddwa ba neyiba oluvanyuma lw’okuwulira emiranga ne bayita Poliisi.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti Kemigisha ne bba Gilbert Habomugisha baayawukana emyaka egisukka mwe 3.

Ku Poliisi, Habomugisha agamba nti abaana yali yabatwala mu kyalo mu disitulikiti y’e Kisoro eri Jjajja waabwe wabula Kemigisha yabaggya mu kyalo ku ntandiikwa y’omuggalo gwa Covid-19 era abadde abanoonya.

Owoyesigyire agamba nti Kemigisha abadde atulugunya abaana omuli obutabawa mmere era bamutwala mu kkooti ku misango gy’okutulugunya abaana.

Eddoboozi lya Luke