Kyaddaki Gavumenti eyanjulidde Palamenti enoongosereza zebetaaga mu tteeka erikwata ku kitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB).

Enoongosereza eza Uganda National Examinations Board , 2020 zanjuddwa Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebisookerwako Rosemary Nansubuga Seninde mu Palamenti akawungeezi ka leero.

Mu nkyukakyuka, buli muntu yenna anaasangibwa nga yenyigidde mu kubba ebigezo mu kiseera kye bigezo oba nga tekinnaba, wakusibwa emyaka egitakka wansi 10 oba okuwaayo obukadde 40 oba byombi.

Minisita Rosemary Nansubuga Seninde
Minisita Rosemary Nansubuga Seninde

Mungeri y’emu buli muntu yenna aneenyigira mu kubulankanya ensimbi z’abayizi ez’okwewandiisa oba okuyambako omwana okwenyigira mu kubba ebigezo naye wakusibwa emyaka egitakka wansi 10 oba okuwaayo obukadde 40 oba byombi.

Mu noongosereza, era Minisita agambye nti omuntu yenna anaabulankanya ebigezo oba ekintu kyonna ekyekuusa ku nteekateeka y’ebigezo omuli n’okuwa amawulire amakyamu, wakusibwa emyaka egitakka wansi 10 oba okuwaayo obukadde 20 oba byombi.

Minisita Seninde agamba nti nkyukakyuka zebetaaga, zigenda kuyamba nnyo okulongoosa omutindo gw’ebigezo mu ggwanga.

Sipiika Kadaga enoongosereza aziweereza mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyenjigiriza okwongera okuzitesaako.