Poliisi mu Kampala ekutte abantu 32 ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga ne Minisitule y’ebyobulamu egy’okwewa amabanga n’okusigala awaka mu ssaawa za Kafyu.

Abakwate, basangiddwa mu kibanda mu bitundu bye Katanga, Wandegeya mu Kampala mu kiro, ekikeseza olwaleero nga balaba mupiira Arsenal mwewangulidde Liverpool ggoolo 2 kwe 1.

Kigambibwa Arsenal okuteeba ggoolo, y’emu ku nsonga lwaki abasirikale baategedde nti mu kibanda mulimu abantu olw’enduulu, eyakubiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate abali ku Poliisi y’e Wandegeya ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’okutangira Covid-19 okusasaana era essaawa yonna, bakutwalibwa mu kkooti.