Gavumenti mu ggwanga erya Rwanda ekirizza amasinzizo okuggulawo sabiti eno wabula gawereddwa obukwakulizo obukambwe.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Ssabaminisita, abantu bonna balina okwewandiisa nga tebannaba kuyingira mu masinzizo.

Mungeri y’emu agambye nti balina okunaaba mu ngalo, okwambala masiki ng’ate beesudde amabanga.

Mu kiwandiiko, Ssabaminisita era agambye nti abantu tebalina kuwa kirabo mu masinzizo ate abaana abali wansi w’emyaka 12 baganiddwa okwetaba mu kusaba.

Rwanda yaggalawo amasinzizo nga 14, March, 2020 oluvanyuma lw’okufuna omuntu eyasooka nga mulwadde wa Covid-19.

Amasomero galagiddwa okusigala nga maggale okutuusa mu September, 2020.

Rwanda erina abalwadde 1,435 nga yakafiisa abantu 4.