Kyaddaki munnamaggye eyaganyuka Rtd Col. Dr. Kizza Besigye ayanukudde bannayuganda abagamba nti ye ssaawa okulangirira nti anyuse ebyobufuzi, tagenda kuddamu okwesimbawo wadde okuvuganya mu kulonda kwonna.

Besigye nga yaliko ssenkagale w’ekibiina kya FDC, okuvaayo, kidiridde omu ku bannayuganda ng’asinzira ku mukutu ogwa Twitter mu maanya ga ‘Ugaman1 Offical’ okusaba omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne Besigye, okulabira ku Winnie Kiiza, eyalangiridde nga bw’atagenda kuddamu kwesimbawo ng’omubaka omukyala owe Kasese mu kulonda kwa 2021.

Kiiza agamba nti bbanga ly’amaze ng’ali mu Palamenti asobodde okuwereza obulungi abantu kyokka e Kasese waliwo abakyala abangi abalina obusoobozi, okuteeka ettofaali mu kulakulanya ekitundu kyabwe.

Abamu ku bannayuganda bagamba nti Besigye ne Mukulu Museveni, bandibadde bakkiriza okuwumula okuwa omukisa abantu abalala, okutambuza eggwanga lino nga balabira ku kyakoleddwa Winnie Kizza.

Wabula Besigye eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga emirundi 4 agamba nti mu myaka 20 tabaddeeko mu offiisi ya Gavumenti yonna wadde okufuna omusaala mu Gavumenti wabula naye ali ku ludda lw’abantu abetaaga enkyukakyuka mu ggwanga.

Mungeri y’emu agambye nti okuva 2012, tabadde mukulembeze wa kibiina kyonna nga yewuunya, abantu abagamba nti agwanidde okudda ebbali ate nga naye ali ku nsonga y’emu, yakuleeta nkyukakyuka.

Ebigambo bya Besigye biraga nti talina ntekateeka yonna okulekera omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okwesimbawo yekka okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti mu kulonda kwa 2021.
Besigye agamba nti waliwo ebintu eby’enjawulo ebiyinza okulemesa buli muntu omu yenna okuwangula obwa Pulezidenti era okulekera omuntu yenna, tekimuwa mukisa kulya bwa Pulezidenti.