Abatuuze bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu nsonga zaabwe olw’amaggye agaasindikibwa ku nnyanja okulwanyisa envuba embi, okwenyigira mu kulya enguzi n’okutimpula abantu emiggo.

Abatuuze mu disitulikiti y’e Mayuge ne Jinja bagamba nti amaggye galina akaduukulu ku kizinga kye Namugongo mu disitulikiti y’e Mayuge gye basinzira okutimpula abantu emiggo n’okubagyako ensimbi.

Omuntu yenna singa akwattibwa nga yenyigidde mu nvuba embi agibwako ssente emitwalo 40 ate singa asaangibwa ng’atambuza ebyenyanja ebito, agibwako ssente emitwalo 60 oba okubatimpula emiggo nga tewali bya kubatwala mu kkooti.

Edward Kyambadde, nga mutuuze ku kyalo Wanyange mu kibuga kye Jinja agamba nti yakwattibwa nga 5, July, 2020 bwe yali agenze ku Lake Victoria okuvuba.

Kyambadde agamba nti yatwalibwa amaggye mu kayumba k’essubi gye yasaanga abantu 8 nga bonna balina okuwaayo ssente mu ngeri y’enguzi okubayimbula.

Agamba nti amaggye gayimbula abantu babiri (2) abaali bawaddeyo ssente ate bonna 7 babakuba emiggo 250 buli omu, oluvanyuma ne bayimbulwa nga wayise ennaku 3, nga 9, July, 2020.

Eddoboozi lya Kyambadde

Kyambadde mu kiseera kino anyiga biwundu ku kabina, oluvanyuma lw’emiggo gye baamukuba.

Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti embeera eyamutuusibwako n’okutuusa olunnaku olwaleero, yetaaga buyambi, okugyerabira.

Ate Esteri Mulondo, omutuuze ku kizinga kye Namoni mu disitulikiti y’e Mayuge agamba nti mu May, 2020, yakubiddwa emiggo 100 ate nga famire ye, ewaddeyo ssente emitwalo 25.

Mulondo agamba nti bamugyamu engoye ne bamukuba emiggo mu maaso g’abasajja.

Christopher Mbode, omu ku bakulembeze ku kizinga kye Bwonda mu disitulikiti y’e Mayuge, agamba nti omwaka oguwedde ogwa 2019 abantu 4 baafa nga besudde mu nnyanja olw’okutya okukwattibwa amaggye.

Ku nsonga ezo, Ronald Akandwanaho addumira Poliisi erwanyisa envuba embi mu disitulikiti ye Jinja ne Mayuge asuubiza abatuuze okunoonyereza ku bigambibwa nti abamaggye, benyigidde mu kutimpula abantu emiggo n’okwenyigira mu kulya enguzzi.

Wabula Kinnajjukirwa nti Mukulu Museveni mu kwogerako eri eggwanga sabiti ewedde, yalangirira okulwanyisa abantu bonna abenyigidde mu nvuba embi, nti bakoze kyamaanyi okufiiriza eggwanga obukadde bwa ssente.

Museveni agamba nti olw’amaggye okusindikibwa ku nnyanja, ebyenyanja byeyongedde obungi, ekigenda okuwa eggwanga Biriyoni za ssente.