Abayiiya, omuli abayimbi, bannakatembe n’abakozi ba ffirimu bongedde okutabukira ekitongole ekirondoola eby’empulizigannya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commisiion (UCC) ku mateeka amapya gekyaleese okubalungamya.

Agamu ku mateeka kuliko Okufuna layisinsi ezibakkiriza okuyiiya, okutwala ebiyiiye eri UCC okubyekeneenya n’okuzuula abantu abatuufu abali mulimu gw’okuyiiya.

Wabula Phillip Owere, omukubirizza mu kibiina ekigatta abayimbi ekya Uganda Musician Association –UMA, agamba nti eky’okusindiika ennyimba oba emizannyo mu UCC, kigendereddwamu okubalemesa okuyiiya.

Mungeri y’emu agambye nti amateeka, tegaleeteddwa mutima mulungi nga y’emu ku nsonga lwaki, bangi ku bannabitone, bagasimbidde ekkuli.

Eddoboozi lya Owere

Ibrahim Bbosa
Ibrahim Bbosa

Ku nsonga ezo, tuwayizaamu n’omwogezi wa UCC Ibrahim Bbosa era agambye bannabitone balina okuvaayo ku mateeka agaaleteddwa okusinga okwemulugunya nga tebavuddeyo.

Bbosa agamba nti mulimu obuwayiro obuyinza okunyigirza abayiiya kyokka singa batuula basobola okukyusaamu.

Eddoboozi lya Bbosa