Poliisi mu Kampala ekutte Robert Kakooza Kwesiga amanyikiddwa nga Sanya Tim myaka 25 nga mutuuze we Kasokoso Kireka mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ku misango gy’okwagala okwetta.

Kakooza abadde agezaako, okwekumako omuliro mu offiisi za People People ez’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) e Kamwokya emisana ga leero.

Agamba nga 19, Omwezi guno Ogwomusanvu, bwe baali bagenda okuziika omugenzi Charles Mutyabule mu disitulikiti y’e Kayunga nga People Power, Poliisi yatwala Pikipiki ye, naye nakwattibwa, natwalibwa ku Poliisi y’e Nagalama.

Kakooza wakati mu kulukusa amaziga agamba nti oluvanyuma lw’okuyimbulwa, Poliisi yagaana okumudiza Pikipiki ye ng’alina okuwaayo emitwalo 20.

Ku Poliisi, Kakooza agambye nti Fred Nyanzi yamusuubiza okumuwa ssente emitwalo 20 okuggyayo Pikipiki ye wabula olutuuse mu offiisi, amuwadde emitwalo 4.

Amangu ddala asobeddwa ne yeeyiwako amafuta ga petulooli okweyokya wabula Poliisi eyitiddwa era bagenze okumwekebejja ng’alina akabiriiti akazungu akamanyikiddwa nga ‘lighter’ mu nsawo ya jjaketi.

Okusinzira ku Patrick Onyango omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Poliisi etandiise okunoonyereza ku basirikale baabwe abagambibwa okusaba enguzi ya mitwalo 20 nga ne Kakooza abadde ayagala okwetta atwaliddwa ku Poliisi y’e Kira.

Kinnajjukirwa nti ku ntandiikwa y’omwezi guno Ogwomusanvu, Hussein Walugembe eyali avuga bodaboda mu bitundu bye Masaka yettira ku kitebe kya Poliisi e Masaka mu offiisi evunaanyizibwa ku biduuka, ku bigambibwa nti yali asabiddwa ssente okumuddiza pikipiki ye eyali yatwalibwa oluvanyuma lw’okumusanga ng’ atisse omusaabaze.