Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga azzeemu okuvaayo ku nsonga z’okulonda omukulembeze w’eggwanga mu kulonda kwa 2021.

Mu kwogerako eri Obuganda ekiro kya leero, Katikkiro agamba nti Abaganda betegese bulungi nnyo okuwagira omuntu yenna omwetegefu okuwagira n’okuteeka mu nkola Ssemasonga ettaano.

Agamba nti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, Mugisha Muntu oba Erias Lukwago singa yesimbawo ku bwa Pulezidenti n’abalala balina okuvaayo okulaga webayimiridde ku nsonga za Buganda, abantu betegefu okulondako omuntu omutuufu, “Ssemasonga ettaano ly’ekkubo eritutwala gyetwagala okugenda era ku ntikko gyetwagala Buganda Kingdom okutuuka. Omuntu abeere n’emmere omumala n’affisa nako n’aguza nammwe. Abantu balina okubeera n’eddembe lyabwe nga teri abakuba ku nsoloboto. Ensonga Ssemasonga Ettano (Ebyaffe) kwe kukuuma n’okutaasa Nnamulondo, federo, ettaka, okukola obutaweera n’Obumu, byetwetaaga mu Buganda, abantu ba Buganda balonde omuntu agenda okulwanirira ensonga Ssemasonga Ettaano. Njagala munnabyabufuzi aveeyo nti agenda kulwanirira Federo, ekitiibwa kya Kabaka tulabe oba abantu tebabalonde. Tetwagala bakulembeze banafu. Eyesimbyewo aveeyo atubulire waayimiridde ku nsonga za Buganda ssemasonga ettano”.

Ate ku nsonga ezisinze okuvaakko embeteza ku ttaka mu Uganda, Katikkiro Mayiga agambye nti, ” Obunafu mu Poliisi bungi mu kunonyereeza ku nsonga z’ettaka, Obunafu obuli mu Kkooti bungi. Lwaki Kkooti tekutula nsonga z’ettaka mu budde?, Obuvuyo mu woofiisi y’ettaka bungi ddala, Abantu beeyongedde nnyo mu Uganda ate ettaka teryengodde ate likaddiye ne Okuyingiza eby’obufuzi mu nsonga z’ettaka kireese obuzibu ku ttaka. Ettaka mu Buganda lyeririiko akaliibwa kubanga mu Buganda weewali buli kimu”.

Eddoboozi lya Katikkiro