Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi mu Kampala eyongezaayo ekiwandiiko ekiragira omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleon okweyanjula mu kkooti, okwewozaako.

Omulamuzi Pamela Lamunu Ocaya alagidde Chameleon okweyanjula mu kkooti nga 22, October, 2020, leero bw’atalabiseeko.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Bakanansa Hilder lwe lusabye omulamuzi okwongezaayo omusango ogwo okutuusa nga 22, Ogwekkumi.

Chameleon ali ku misango 2 omuli okuba n’ekidduka ekitaliiko nnamba n’okulemwa okuleeta ebiwandiiko byakyo.

Okusinzira ku Simon Peter Ogwang, omukozi mu kitongole ky’omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA), Chameleon yasangibwa n’emmotoka ekika kya Toyota Land Cruiser V8 nga kiriko enamba SSD 499B okuva mu ggwanga erya South Sudan mu bitundu bye Wakaliga-Bulange Mengo nga 12, April, 2020.

Ogwang agamba nti Chameleon baamulagira okutwalira URA ebiwandiiko ebiraga nti emmotoka ekkirizibwa mu Uganda, ekintu ekyamulema n’okutuusa olwaleero.

URA egamba nti Chameleon yalemwa okusasula omusolo gw’okuyingiza emmotoka mu Uganda obukadde 137, ekintu ekimenya amateeka.