Omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleon akirizza okudda ku mmeeza okuteesa n’ekitongole ky’omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA), ensonga okuziggya mu kkooti.

Chameleon ali ku misango 2 omuli okuba n’ekidduka ekitaliiko nnamba za Uganda n’okulemwa okuleeta ebiwandiiko byakyo.

Emmotoka eyogerwako, ekika kya Toyota Land Cruiser V8 nga yaliko enamba SSD 499B okuva mu ggwanga erya South Sudan nga yasaangibwa mu bitundu bye Wakaliga-Bulange Mengo nga 12, Ogwokuna, 2020.

Wabula okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Bakanansa Hilder, Chameleon akirizza ogonjoola ensonga ez’ebweru wa kkooti, okuva mu kkooti erwanyisa obuli bw’enguzi wansi w’omulamuzi Pamela Lamunu Ocaya era akirizza nti abanjabibwa obukadde 77 nga buli mwezi alina okuwaayo obukadde 20.

Oludda oluwaabi, lugamba nti Chameleon singa alemwa okuteeka mu nkola endagaano, balina okumuzaayo mu kkooti akangavulwe.

Munnamateeka wa Chameleone Henry Lubowa ayogedde naffe ku kya Chameleone okuteesa n’ekitongole kya URA era agamba nti balina okuteeka mu nkola endagaano.

Eddoboozi lya Lubowa