Poliisi eri mu kunoonya omusajja ku misango gy’okutta omwana mwaka gumu ku kyalo Konko mu Monicipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omwana Amili Kasiga yattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga yakubiddwa Omusajja Geoffrey Mugoya payipu ku mutwe.

Maama w’omwana Irene Nakamya agamba nti Mugoya muganda wa bbaawe (mulamu we), era yamusaangiriza n’omusajja omulala Samuel Kawooya neyiba nga bateesa ku nsonga y’embizzi gye yabadde agenda okumuguza kyokka Mugoya yamutabukidde nga bw’amulangira okuyenda ku muganda we.

Maama w'omwana Irene Nakamya
Maama w’omwana Irene Nakamya

Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, Mugoya yakutte Payipu nagikuba omwana ku mutwe era amangu ddala n’agamba nti omwana si muganda we, ng’abadde alina okumutta.

Omwana yafudde nga maama addukira Poliisi y’e Kitigoma okufuna obuyambi n’okunoonya omusajja akubye omwana we.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto, Mugoya aliira ku nsiko mu kiseera kino kyokka neyiba Samuel Kawooya akwattiddwa ayambeko  Poliisi mu kunoonyereza.

Eddoboozi lya Butoto