Abatuuze mu disitulikiti y’e Buyende bawanjagidde abakulembeze okubayamba ku nguudo embi, ezeyongedde mu kitundu kyabwe ekyongedde okubalemesa okutambuza emirimu.

Abatuuze bagamba nti enguudo zonna ezibagatta ku disitulikiti y’e Kamuli ne Kaliro zijjudde ebinnya ssaako amazzi emyezi egisukka 2.

Embeera y’enguudo ku byalo okuli Kamuli – Bukungu, Buyende – Kidera, eviriddeko abatuuze okusigala ng’abasobeddwa ku ngeri y’okutambuza ebintu.

Francis Wakaila, omu ku batuuze agambye nti olw’enguudo embi, obubenje bweyongedde obungi mu kitundu kyabwe ekivuddeko n’abantu okufa.

Eddoboozi lya Wakaila

Ate Joy Mukyala, nga naye y’omu ku batuuze abakoseddwa agambye nti olw’enguudo embi, abakyala basaanga akaseera akazibu okufuna obujanjabi, ekivuddeko abakyala okufa n’okuzaalira makkubo, nga bagenda malwaliro.

Eddoboozi lya Mukyala

Ku nsonga eyo, akulira ekitongole kye by’enguudo mu bitundu bye Jinja Dinah Nakombe agambye nti amazzi okujjula mu nguudo kivudde ku Lake Kyoga okujjula amazzi wabula ba Yinginiya basindikiddwa, okusalira ensonga eyo amagezi.