Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akangudde ku ddoboozi ku bitongole ebikuuma ddembe ebyegumbulidde okutwalira amateeka mu ngalo, ekivuddeko n’abantu abamu okuttibwa.
Magulunyondo alabudde ebitongole ebikuuma eddembe, okweyambisa amateeka okutwala mu kkooti abenyigidde mu kumenya amateeka, okusinga okutta abantu n’okubatusaako obulabe, nga bateeka mu nkola ebiragiro by’okutangira Covid-19 okusasaana, “Kikyamu omukuumi w’eddembe okuwa abantu ekibonerezo naddala eky’okufa nga tatwaliddwa mu kkooti“.
Kabaka 1

Bw’abadde ayogerako eri abantu be, ku mikolo gy’amatikkira mu Lubiri e Mmengo nga obuganda bujaguza olwa Kabaka waabwe okuweza emyaka 27 ng’ali ku Nnamulondo, Kabaka ajjukizza Gavumenti okuteeka amaanyi ku ndwadde endala ezongedde okutta abantu mu kaseera kano ak’okulwanyisa Covid-19.

Kabaka 2

Mungeri y’emu Maasomoogi akubirizza abavubuka obutagwamu ssuubi mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.
Agamba nti newankubadde obwavu bweyongedde naye abantu okwetta, kikolwa ekiraga nti baweddemu essuubi, “Tukiddinganye lunye nti omulembe gw’abavubuka, tujja kilwanirira okulaba nga abavubuka tebaggwamu ssuubi”.

Kabaka 3

Gavumenti eya wakati ekiikiriddwa amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi era mu kwogera kwe, asiimye emirimu egikoleddwa Omutanda ebbanga ly’amaze ku Nnamulondo, omuli okulwanyisa endwadde, okulambika abantu be n’okulemberamu okutumbula enkulakulana.

VP SSekandi

Ate Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga ajjukiza Gavumenti nti Obuganda bukyetaaga Federo, okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Mukuumaddamula agamba nti ye ssaawa okutuula ne Gavumenti okuteesa okuggya mu ddiro ensonga ya Federo.

CP Mayiga

Amatikkiro ga leero, getabiddwako abantu ab’enjawulo omuli Maama Nnabagereka, Abaana b’engoma, Ba Katikkiro abaawummula, bannadiini, abakiise ba Palamenti n’abalala.