Omuyimbi Pius Mayanja amanyikiddwa nga Pallaso atabukidde ekitongole ekya Poliisi okumutusaako obulabe n’okubateeka mu mbeera eyinza okulwaza Covid-19.

Pallaso agamba nti yakubiddwa Poliisi bwe yalumbye amaka ge e Makindye ku lunnaku Olwokusatu.

Bw’abadde awayamu naffe ng’asinzira mu ddwaaliro erya Albert Cook Hospital, Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso, Pallaso agamba nti yakubiddwa, tamannyi nsonga yonna lwaki yakubiddwa nga n’abasirikale batuuse makaage nga tewali ayambadde masiki, ekintu ekiyinza okubasiiga obulwadde.

Mungeri y’emu agamba nti abantu bonna abasaangiddwa makaage bonna bakozi be, abamuyambako mu kisaawe ky’okuyimba.

Eddoboozi lya Pallaso

Mungeri y’emu agamba nti ebintu bye, byatwaliddwa omuli essimu, ensawo ya ssente ssaako n’ebintu ebirala.

Agamba nti ayagala Poliisi eveeyo okutangaza eggwanga oba kimenya amateeka okuba ne famire y’abantu abangi.

Eddoboozi Lya Pallaso Two

Wabula Poliisi egamba nti abatuuze mu zzooni y’omu Luwafu, babadde basukkiridde okwemulugunya nga Pallaso bw’alina abantu abangi makaage ate nga bawoganya ebizindalo, ekibalemesa okuwumulako.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Pallaso ne banne baakoze effujjo ku basirikale nga batuuse makaage era anoonyezebwa nga mu kudduka yatutte empingu za Poliisi.