Abawagizi b’omuyimbi Pia Paunds bamutabukidde nga bagamba nti alemeddwa okudda mu situdiyo okuyimba ennyimba ng’olowooza nti alina kweyambisa nnyambala okufuna abawagizi.

Paunds eyakuyimbira ennyimba omuli Taala, Kibeera Kyo, Byompa, Bintwala, sili Muyaaye n’endala asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okugamba nti, “Ompita sukaali, Nkuwe ku chai, Walai talahi, There’s no one like u, No one ma boo“.

Kigambibwa Paunds abadde ayogera ku luyimba lwe wabula abawagizi be, bamwambalidde nga bagamba nti abasukkiridde okwambala mu ngeri eyeesitaza era mbu y’emu ku nsonga lwaki omusajja yamusuulawo. Nabatanzi Irynah agamba nti, “Kyova olaba omusajja yakulekawo olaba bwoyambala“.