Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okudda ku baana abato okubasobyako nga abasuubiza ssente wakati we 100 ne 500 ssaako ne Swiiti.

Steven Ssendi ali mu gy’obukulu 48 nga mutuuze ku kyalo Wabikere mu ggoombolola y’e Mukungwe mu disitulikiti y’e Masaka yakwattiddwa ku bigambibwa nti abadde asobezza abaana abasukka mu 10.

Abamu ku bazadde abagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe, bagambye nti Ssendi abadde yafuna ekifo, mwateeka ssente ssaako swiiti eby’abaana basobezaako ng’abasuubiza okubawasa nga bakuze.

Mungeri y’emu bagambye nti abaana baludde nga batambula banigiina olwa Ssendi okubasobyako ng’abamu batandise n’okuvunda ebitundu by’ekyama kwe kusaba Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi okuyingira mu nsonga zaabwe, okufuna amazima n’obwenkanya.

Eddobooozi lya Abazadde

Ku Poliisi, Ssendi wadde akwattiddwa, yegaanye ku by’okudda ku baana abato okubasobyako wadde akirizza eby’okubawa swiiti ne ssente ng’abaana abato ate nga mikwano gye.

Eddoboozi lya Ssendi

Ssentebbe w’ekyalo Lutaaya Gerald agamba nti newankubadde Ssendi akirizza eby’okusobya abaana abato kyokka n’abazadde basukkiridde obulagajjavu ku nsonga z’abaana baabwe.

Ku nsonga ezo, Shida Juliet akola ku nsonga z’abaana ku kitebe kya Poliisi e Masaka, agambye nti Ssendi akebeddwa ng’alina siriimu era aguddwako omusango gw’okusobya ku baana abato.