Bya Nalule Aminah

Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okutambuza enjaga ng’asangiddwa ku luguudo lwe  Mityana – Mubende.

Kibuule Vicent myaka 20 yakwattiddwa ng’enjaga, abadde agitambuliza mufaaliso ku Pikipiki namba UFA 854X.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, enjaga ebadde ensawo emu n’ekitundu era Kibuule olukwattiddwa, atwaliddwa ku Poliisi y’e Kalamba-Kiganda.

Ku Poliisi, Kibuule agambye nti enjaga yamuwereddwa Richard Mayungwe omutuuze ku kyalo Kikunyu mu ggoombolola y’e Makulubita mu disitulikiti Luweero ng’agitwala mu katawuni k’e Mubende.

Enanga agamba nti wadde Kibuule akwattiddwa, Poliisi eri mu kunoonya abantu bonna, abali mu kutambuza enjaga.

Ku Poliisi, Kibuule agambye nti enjaga yamuwereddwa Richard Mayungwe omutuuze ku kyalo Kikunyu mu ggoombolola y’e Makulubita mu disitulikiti Luweero ng’agitwala mu katawuni k’e Mubende.

Eddoboozi lya Enanga