Poliisi eri mu kunoonyereza ku musango gw’obutemu mu disitulikiti y’e Agago.

Mu kiro ky’olunnaku olwa 28, July, 2020 ku kyalo Kakil West mu ggoombolola y’e Paimol mu disitulikiti y’e Agago omusajja Okidi John Edoo myaka 58 yatemuddwa Odongkara David.

Kigambibwa Odongkara yageenze mu maka ga nnyina Ongor Karla kwe kusanga ng’ali mu kaboozi n’omusajja Okidi.

Odongkara yakutte Okidi ng’ali bwereere namutwala ebweru w’ennyumba namukuba embazzi ku mutwe era yafiiriddewo.

Oluvanyuma yasudde omulambo ebbali w’ekkubo ku luguudo lwe Paimol – Kalongo mu maaso g’essomero lya Kakil Primary School.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti omukyala Ongor Karla ne mutabani we Odongkara baliira ku nsiko mu kiseera kino ku misango gy’obutemu.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi ezudde ebizibiti omuli engoye n’embazzi nga byonna bijjudde omusaayi.