Obunkenke bweyongedde mu Uganda olw’omuntu owokutaano (5) okufa Covid-19.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, afudde abadde mukyala myaka 46 nga munnayuganda Omuyindi era abadde mutuuze we Kibuli.

Minisitule egamba nti omugenzi yasookera mu ddwaaliro e Kibuli ng’alina obuzibu bw’okussa oluvanyuma ne bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Oluvanyuma lw’okufa, yagiddwako sampo ne zitwalibwa okwekebejjebwa ku Uganda Virus Research Institute, ku Yunivaasite e Makerere ne Butabika era zonna, ziraga nti abadde alina Covid-19.

Minisitule eraga nti omugenzi abadde alina sukaali ne Asima, ekivuddeko Covid-19 okumutta amangu.

Ate ku Sampo z’abantu 2,485 ezakebeddwa olunaku olw’eggulo, 13 bazuuliddwa nga balwadde.

Uganda yakafuna abalwadde 1,195 nga 1070 basiibuddwa mu ddwaliro.