Mu kiseera ng’okulonda kwa 2021 kubindabinda, nate abantu ab’enjawulo bongedde okuvaayo okwekeneenya abantu abagwanidde okuvuganya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Nga wasigadde emyezi 6 bannansi okulonda abakulembeze okuva ku bwa Pulezidenti, nate munnakatemba Dr. T. Amale naye avuddeyo okuwabula eggwanga ku bantu abakavaayo nga beegwanyiza obwa Pulezidenti.

Dr. T. Amale agamba nti tayinza kwesiga muntu alina obuyigirize mu kuyimba, okuzina ne Katemba (Music Dance and Drama – MDD) ku bukulembeze bw’eggwanga kuba ayinza okuba ali mu katemba.

Ebigambo bya Dr. T. Amale biraga nti tasobola kuwagira omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Okusinzira ku Palamenti, Bobi Wine musajja muyigirize mu by’okuyimba, ekiraga nti asobola okwesimbawo ku kifo kyonna mu ggwanga.

Wadde Dr. T. Amale agamba nti tasobola kwesiga muyimbi ku bwa Pulezidenti, bangi ku bannayuganda bagamba nti Bobi Wine yagwanidde obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021.

Eddoboozi lya Dr. T. Amale