Poliisi erina abantu 9 abawagizi b’ekisinde ki People Power, abakwattiddwa olunnaku olw’eggulo mu disitulikiti y’e Mbale.

Abakwate kuliko Abbas Wetaaka, Kansala w’abavubuka e Nakaloke Yusuf Kadama, Judith Khakai, Abby Mutebi, Farouk Kato, Sam Ssenyonga, Kato Mulongo, Aqiram Kasirivu ne Richard Musajjaawanza.

Mu ddukaduka wakati w’abasirikale n’abatuuze nga Poliisi egezaako okuteeka emisanvu mu kkubo okulemesa omubaka we Kyadondo East era Pulezidenti w’ekibiina ki National Unit Platform-NUP Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okukyala ku BCU FM, Poliisi yakubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala, 9 kwe kukwattibwa.

Ku laadiyo, Bobi Wine yabadde asuubirwa okwogerako eri abawagizi be ng’ali n’omubaka we Manjiya John Baptist Nambeshe n’abalala.

Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon agambye nti abakwate baguddwako emisango gy’okung’aana, ekiyinza okusasaanya ekirwadde ki Covid-19.

Wabula Nambeshe era omukwanaganya wa NUP mu bitundu bye Bugisu agambye nti bagenda kutwala Poliisi mu kkooti ku musango gw’okutataaganya pulogulamu yaabwe n’okuyuza engoye zaabwe.

Eddoboozi lya Nambeshe