Omuyimbi Edrisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo awanjagidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okumuwa omukisa okuddamu okumusisinkana, okumuloopera abantu abasukkiridde okumuvuma n’okumuyisaamu amaaso.

Kenzo agamba nti alina ensonga ez’enjawulo zeyandyagadde okutegeeza omukulembeze, singa afuna Omukisa Ogwokubiri.

Bw’abadde ayogerako eri abawagizi be ng’asinzira ku mukutu ogwa Face Book, kabuze kati akulukuse amaziga bw’ategeezeza, nti bannayuganda basukkiridde okweyawulamu, ekivudedeko okumuvuma buli lunnaku.

Mungeri y’emu agambye nti era yandyagadde okusisinkana Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okulaga ensi, okwegatta gemaanyi ku buli nsonga yonna.

Eddoboozi lya Kenzo

Mungeri y’emu abikudde ekyama lwaki munyivu eri omukulembeze w’eggwanga.

Kenzo agamba nti yakola kyamaanyi nnyo mu Kampeyini za 2011 mu kuyimba mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo kyokka teyasasula era ekyabaanja ssente ze.

Kenzo 11

Ku nsonga y’abantu okwolesa obukyaayi ku bantu abegwanyiza obukulembeze mu ggwanga, Kenzo agamba nti buli muntu waddembe okuvaayo okwogera ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga, okusinga okumulemesa ssaako n’okumulangira ebisongovu.

Kenzo 111

Kinnajjukirwa nti mu June, 2020, omukyala Zari Hassan yali munyivu nnyo olw’okuvumibwa bannakisinde kya People Power olw’okubuuza oba ddala omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alina ebisanyizo okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Zari yategeeza nti buli muntu yenna mu Uganda alina eddembe okwebuuza n’okuwabula ku muntu yenna eyeegwanyiza obwa Pulezidenti bwa Uganda, ate ne Kenzo naye avuddeyo ku nsonga zezimu.