Libadde ssanyu gyereere ku kitebe kya National Unity Platform (NUP) e Kamwokya, bannakibiina kya Democratic Party (DP)  abeegatira mu kisinde kyabwe ekya DP-Block, bonna we begasse ku NUP.
Abavudde mu DP kuliko Ssaabakunzi w’ekibiina Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone, omubaka wa Monicipaali y’e Mukono Betty Nambooze Bakireke, Makindye West Allan Ssewanyana, Rubaga North Moses Kasibante ne Medard Sseggona akikirira Busiro East.
Abalala kuliko Ssentebbe wa disitulikiti y’e Wakiso Mathias Lwanga Bwanika, omwogezi wa DP Kenneth Kakande, Michael Mabikke n’eyeli yeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino Dr. Abde Bwanika asuddewo ekibiina kye ekya People’s Development Party (PDP) ne yeegata ku NUP wamu n’abakulembeze abalala.
Omukolo gukulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine era abakuutidde okusigala nga bakola nnyo okutuusa nga baleese enkyukakyuka mu ggwanga.
Mungeri y’emu bajjukidde abantu abaakafa wakati mu kulwana nga betaaga enkyukakyuka mu ggwanga omuli Ritah Nabukenya, Dan Kyeyune, Charles Mutyabule n’abalala.

Mao ng'awa Dr. Jose Chameleone kaadi mu 2019
Mao ng’awa Dr. Jose Chameleone kaadi mu 2019

Omwaka 2019, Pulezidenti w’ekibiina ki DP Nobert Mao yalonda Dr. Chameleone nga ssaabakunzi w’ekibiina kya DP kyokka mu bbanga lya mwaka gumu, Chameleone asuddewo DP okuyingira NUP.
Abamu ku bannakibiina kya DP bagamba nti Chameleone musajja w’ankwe era sikyangu kati abantu okumwesiga.

Agava mu NUP galaga nti wadde Dr. Chameleone afunye kaadi y’ekibiina, Bobi Wine tannaba kumwesiga nnyo.
Omu ku bannakibiina kya NUP abali ku lusegere lwa Bobi Wine agaanye okwatuukiriza amaanya ge, agambye nti Bobi Wine alimu ekirowooza nti Dr. Chameleone mbega wa NRM.

Mungeri y’emu agambye nti Bobi Wine yalagidde buli memba wa NUP okwaniriza buli muntu avuddeyo okwegatta ku kibiina kyabwe nga buli omu bamwekeneenya ebikolwa bye.

Mpuuga Mathias, Hon. Medard Lubega Sseggona, Hon. Betty Nambooze Bakireke, Hon. Muhammad Muwanga Kivumbi, Hon. Joseph Ssewungu Gonzaga, Hon. Allan Sewanyana, Hon. Veronica Nanyondo, Hon. Moses Kasibante, Hon. Sempala Kigozi, Hon. Florence Namayanja, Hon. Robina Sentongo n’abalala.