Omuwala ali mu gy’obukulu 16 eyavudde mu Kampala nga yesuunga okusinda omukwano omulundi gwe ogusoose n’omulenzi we, akiguddeko bw’asibidde ku Poliisi.
Omuwala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti abadde alina Omulenzi eyamukwana ku Face Book nga ye Moses Gira, emyezi egisukka 7 era abadde amuwereza obugambo obujjudde omukwano n’okumusaba okumukyalirako.
Omulenzi yamusindikidde ensimbi ku Lwomukaaga eza tulansipooti, era omuwala yavudde ku bazadde be e Namugongo mu disitulikiti y’e Wakiso ng’alimbye abazadde nga bw’agenda okukyalira baganda be, kwekulinya emmotoka ezidda e Gulu naviramu mu Tawuni Kanso y’e Kamdini akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku ssaawa nga 11.
Omuwala agamba nti yabadde yeesunze okunyumya akaboozi omulundi gwe ogusooka wabula omulenzi yaggyeko amassimu n’okutuusa olunnaku olwaleero.
Ssentebbe w’ekyalo mu Tawuni Kanzo ye Kamdini Moses Omara, agamba nti omuwala atwaliddwa ku Poliisi y’e Kamdini era okunoonya omulenzi kutandikiddewo n’okutekateeka omuwala okudda mu Kampala.