Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu State House aka State House Anti-Corruption Unit, kyaddaki kakutte ssemaka abadde aliira ku nsiko ku misango gy’okutta mukyala we Viola Kakai myaka 38.
Kakai yabadde musawo nga muzaalisa ku ddwaaliro erya International Hospital Kampala (IHK) e Namuwongo era yabadde mutuuze ku kyalo Kiteezi mu disitulikiti y’e Wakiso nga yattiddwa ku ntandiikwa y’omwezi guno Ogwomunaana.
Kigambibwa, omusajja Simon Samanya nga musomesa  ku Global primary school e Isingiro yali alumiriza mukyala we obwenzi oluvanyuma lw’omukyala okudda awaka nga waliwo emmotoka emukomezaawo era amangu ddala yakwata embazzi naamukuba n’okumutematema, okutuusa lwe yafa ng’amulumiriza obwenzi n’okumujooga.

Samanya ku mpingu ng'ali ku Poliisi e Mbarara
Samanya ku mpingu ng’ali ku Poliisi e Mbarara

Abatuuze bagamba nti omusajja yali yafuna Mukenenya ng’omukyala yagaana okuddamu okwerigomba naye wabula bonna okuyambagana mu kulabirira abaana baabwe aba 3.
Okuva nga 1, omwezi guno Ogwomunaana, Ssemaka Samanya abadde aliira ku nsiko okutuusa lwakwattiddwa nga yekwese ku kyalo gye yazaalibwa mu disitulikiti y’e Isingiro.
Mu kiseera kino, ali ku misango gya butemu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Samson Kasasira, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi agambye nti Samanya essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Eddoboozi lya Samanya