Bannayuganda abasukka 30 bebakajjayo empapula mu kakiiko k’ekyokulonda nga beegwanyiza okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okubindabinda okwa 2021.
Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama, luggi lukyali luggule ku bannayuganda bonna abalina ebisanyizo abandyagadde okwesimbawo ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga.
Byabakama mu kwogerako eri bannamawulire ku ntekateeka y’ebyokulonda mu ggwanga, agambye nti bonna abagenda okwesimbawo balina, okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okutangira Covid-19 okusasaana.
Webuzibidde olwaleero nga Pulezidenti w’ekibiina ki Alliance for National Transformation (ANT) munnamaggye eyaganyuka General Mugisha Muntu aggyeeyo empapula okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga.
Empapula za Gen Muntu zigiddwayo Dan Mugarura Bakaki, omukwanaganya w’emirimu mu kakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya ANT ku ssaawa nga 4 ez’okumakya era agambye nti betegese bulungi ddala Muntu okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga.

Eddoboozi lya Mugarura
Mungeri y’emu ne Charles Rwomushana eyaliko ‘Guild’ Pulezidenti ku Yunivasite e Makerere, RDC ne mu kitongole kya ISO, aggyeeyo empapula okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Rwomushana agamba nti alina ebisanyizo byonna era avuddeyo okuzza empisa mu bannayuganda n’ebitongole bya Gavumenti byonna.

Ku abantu abasukka 30 abakaggyayo empapula, ne Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine y’omu kw’abo abaggyeeyo empapula okwesimbawo singa batuukiriza ebisanyizo.