Poliisi ekutte abasajja basatu (3) ku misango gy’okwenyigira mu kubba aba Agenti ba Mobile Money e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso nga beefudde abasindika n’okuggyayo ssente ku massimu gaabwe.

Abakwate kuliko  Kigabane Samuel myaka 53 omutuuze we Mende mu disitulikiti y’e Wakiso, Nsimbwa Isaac myaka 25 omutuuze we Namasuba e Makindye ssaako ne Kigundu Stuart myaka 18 omutuuze we Kayunga.

Abakwattiddwa, babadde baakanyaga abantu ab’enjawulo omuli Namulindwa Immaculate myaka 20 omutuuze w’omu Kitolotolo, Luwunga e Kakiri, Namuli Diana myaka 25 omutuuze mu zzooni y’omu Mukigaga mu tawuni Kanso y’e Kakiri n’abalala.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate bali ku Poliisi y’e Kakiri ku misango gy’obubbi ssaako n’emmotoka yabwe namba UAQ 122K.