Poliisi y’e Mpigi ekutte ssemaka ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ow’emyaka 8.
Solomon Kaweesi myaka 50 omutuuze w’e Mpambire mu Tawuni Kanso y’e Mpigi yakwattiddwa lwa kusobya ku ku mwana wa muliranwa we.
Kaweesi asaangiddwa lubona ng’asobya ku mwana omuto era okukwatibwa, kyaddiridde omwana okuleekaanira waggulu, era muto we ali mu gy’obukulu 5 kwe kuyita kitaabwe.


Ku Poliisi, Kaweesi wakati mu kutya nga yenna amazzi g’ekisajja gamusamukidde ku mpale agambye nti omwana yamusikirizza olw’endabika ye n’amuleetera okumusobyako.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga Lydia Tumushabe, Kaweesi akkirizza omusango era aguddwako gw’okujjula ebitannajja.
Tumushabe agambye nti essaawa yonna bakumutwala mu kkooti avunaanibwe.

Ekifaananyi kya Bukedde