Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alangiridde obutakkiriza muntu yenna kutwalira mateeka mu ngalo mu kiseera kino eky’okulonda abakulembeze mu ggwanga okutuusa 2021 mu kulonda kwa bonna.

Museveni agamba nti waliwo munnakibiina kya NRM eyalumbiddwa bwe yabadde yesimbewo ku ky’abavubuka ewa Kisekka mu Kampala.

Agamba nti tewali muntu yenna akkirizibwa kulumbagana muntu yenna olw’enjawukana mu byobufuzi era yenna anakwatibwako, tewali kumuttira ku liiso wabula okumusanyawo.

Mukulu Museveni bw’abadde ayogerako eri ba NRM mu ttabamiruka w’ekibiina ng’asinzira ku State House Entebe, agambye nti mu Uganda, tewali muntu yenna akkirizibwa kutisatiisa, okuvuma wadde okubba omuntu yenna era akangudde ku ddoboozi nasuubiza okumetenta omuntu yenna.

Museveni One

 Mungeri y’emu agambye nti abasirikale bonna abalemeddwa okangavula bannayuganda  abatwalira amateeka mu ngalo, wakugibwa mu kitongole ekya Poliisi olw’okulagajjalira omulimu gwe.

Museveni agumizza bannayuganda nti ng’akyali mu ntebe, teri muntu yenna gwe bageenda kuddamu kulumbagana mu kibiina kyonna.

Museveni Two

Mungeri y’emu bannakibiina kya NRM abasinzidde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bazzeemu okulonda Mukulu Museveni nga ssentebbe w’ekibiina kyabwe n’okumukkiriza okuddamu okubakwattira  bendere ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2021.