Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda atabukidde ababaka ba Palamenti abasaze eddiiro okuva mu kibiina kya Democratic Party (DP) okudda mu kibiina kya National Unity Platform (NUP) ekya Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Ababaka abaavudde mu DP kuliko Busiro East MP Medard Lubega Sseggona, Bukoto East MP Florence Namayanja, Bukomansimbi Woman MP Veronica Nanyondo, Kyotera Woman MP Robinah Ssentongo, Butambala County MP Muwanga Kivumbi, Kalungu West MP Joseph Ssewungu Gonzaga, Masaka Monicipaliti MP Mathias Mpuuga, Mukono Monicipaliti MP Betty Nambooze, Makindye Ssaabagabo MP Ssempala Emmanuel Kigozi, Makindye West MP Allan Ssewayana ne Moses Kasibante.

Wabula Gashumba bw’abadde ayogerako eri bannakibiina kya DP e Mmengo enkya ya leero, agambye nti ababaka bonna abageenze mu NUP bali mu kukozesa Bobi Wine okutuuka mu bukulembeze wabula tewali ayagala Bobi Wine.

Mungeri y’emu agambye nti kyewunyisa omubaka abadde mu Palamenti emyaka egisukka mu 10 kyokka nga mu kiseera kino yetaaga Bobi Wine okufuna obuwagizi mu bantu okusobola okuddamu okuwangula, ekiraga nti mu bantu taliyo.

Mu kwogera kwe, agambye nti kino kye kiseera DP okuddamu okuzimba ekibiina okulaga amaanyi.

Vidiyo