Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga alabudde abazadde okulemberamu okulambika abaana baabwe mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 ng’abaana abali waka, emyezi egigenda 6.

Mukuumaddamula agamba nti bangi ku baana benyigidde mu kutunda masiki, okutambuza amenvu, ebinyebwa, Chapati okutambuza eby’okunywa omuli Ssooda, amazzi, ekiyinza okubalemesa okudda ku massomero.

Agamba nti mu kiseera abazadde balina okulaga abaana ebirungi ebiri mu kusoma okubakkirizisa okuddayo ku massomero newankubadde abamu bakutte ku nsimbi.

Bw’abadde asisinkanyeko bannabyanjigiriza n’abasomesa ku Bulange e Mmengo, agambye nti abaana bangi bayinza obutadda ku massomero olw’embeera gye bawangaliddemu nga bali ku muggalo.

Katikkiro Mayiga mungeri y’emu agambye nti ebigenda mu maaso mu ggwanga byewunyisa, abasajja okudda ku baana abato okubatikka embuto.

Agamba nti newankubadde abakyala abanoonya abasajja beyongedde obungi, eky’abasajja okusobya ku baana abato, kyetaaga kunoonyerezebwako.

Mayiga One Final

Ate bannabyanjigiriza nga bakulembeddwamu omukungu Micheal Kironde, boogedde amazima nti omuggalo gw’amassomero bangi ku basomesa bagobebwa mu nnyumba, bakola emirimu egiwebuula ekitiibwa kyabwe nga n’abamu, amaka gaweddewo olw’embeera gye balimu ng’abakyala banobye.