Bannakibiina kya National Unity Platform (NUP) nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssetamu amanyikiddwa nga Bobi Wine bakedde kubiteekamu engatto, okukyalirako jjajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge mu makaage e Kibuli.
Bobi awerekeddwako bannakibiina ab’enjawulo omuli omubaka Latif Ssebagala, Mathius Mpuga, omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi n’abalala.


Oluvanyuma lw’ensisinkano, jjajja Nakibinge ayogeddeko eri bannamawulire era akubiriza bannayuganda okwenyigira mu byobufuzi n’okusiima bannakibiina kya NUP okubiriza bantu n’okusingira ddala abavubuka okwenyigira mu byobufuzi eby’emirembe.

Jjajja Nakibinge one

Mungeri y’emu asabye ekitongole ekya Poliisi okuwa omukisa abakulembeze ku ludda oluvuganya okwogerako eri abantu baabwe nga basinzira ku Laadiyo ne ttiivi okusinga okubalemesa.

Jjajja Nakibinge Two

Ate Kyagulanyi Ssetamu alambuludde ekibatutte okukyalira Jjajja Nakibinge omuli n’okumutegeeza entekateeka z’ekibiina mu kulonda kwa 2021.
Kyagulanyi n’abakulembeze mu NUP basuubiza okutambulira ku mateeka n’okuweesa abakulembeze ekitiibwa.

Bobi Wine