Kyaddaki Ssemaka Simon Shimanya eyakwattibwa ku by’okutta mukyala we Violet Kakai eyali omusawo ku IHK abotodde ebyama lwaki yatta mukyala we.
Omukyala Kakai myaka 32 yattibwa nga 1 omwezi guno Ogwomunaana ku kyalo Bbumbu –Kiteezi mu disitulikiti y’e Wakiso nga baamukuba embazzi ku mutwe n’okumutematema era abatuuze webatuukira okutaasa, ng’omulambo guli mu kitaba kya musaayi.
Omusajja Shimanya myaka 40 nga musomesa, yakwatibwa mu disitulikiti y’e Isingiro nga 12 omwezi guno Ogwomunaana ku misango gy’okutta mukyala we.
Enkya ya leero ng’ali ku mpingu, Shimanya bakedde kumuzaayo mu kifo weyakubira mukyala we embazzi, gw’eyali yakazaalamu abaana basatu (3).
Mu bigambo bye, agambye nti omukyala yali asukkiridde obwenzi ng’alina omusajja omulala Robert Sebuufu.
Mungeri y’emu agambye nti ku lunnaku lwatta mukyala we, omukyala yakomawo ng’ali ne Sebuufu mu kamotoka akatono era ng’omusajja, yafuna obusungu nakwata embazzi okulumba okutta Sebuufu olw’okusigula mukyala we, wabula omukyala yateekayo omutwe mu ngeri y’okutaasa omusajja, naamutema.
Shimanya agamba nti mukyala we kati omugenzi, yali mu ntekateeka okutunda ettaka okutudde ennyumba ye ne Sebuufu, nga nakyo, kyayongera okumuggya mu mbeera.
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Sebuufu agambibwa okusigula omukyala kati omugenzi, mutuuze we Mpererwe era yakwattibwa dda ali ku Poliisi y’e Kasangati.
Owoyesigyire agamba nti Shimanya agamba nti Sebuufu ye musajja gwe yali agenda okutta, ate ku Poliisi Sebuufu yategeeza nti omugenzi yali mukwano gwe kyokka ku lunnaku lw’attibwa yali makaage wabula Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza.
Ate abatuuze be Bbumbu bagamba nti omusajja yali yafuna siriimu olw’obwenzi, omukyala naamusaba okwawukana nga tasobola kuddamu kwegatta naye nga kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki yatta mukyala we olw’obusuungu n’ebubba.