Munnamateeka Male Mabiriizi alemeddeko, ayagala omubaka we Kyadondo East mu Palamenti era Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) aveeyo okulaga eggwanga nti alina ebisanyizo okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.
Okusinziira ku mukutu gwa Palamenti gulaga nti Kyagulanyi yazaalibwa mu 1982, natuula S6 ng’alina emyaka 16, S4 yagituula alina emyaka 13 olwo P7 nakituulira ku myaka 9.

Male Mabiriizi
Male Mabiriizi

Wabula munnamateeka Mabirizi agamba nti Bobi Wine alina okuleeta empapula kuba ebiwandiiko ebiri ku ‘website’ ya Palamenti biraga Bobi Wine yatandika okusoma ku myaka 2, ekitasoboka.

Mabirizi ayagala akakiiko k’ebyokulonda okuyambako okuzuula n’okulaga eggwanga oba ddala Bobi Wine alina empapula z’obuyigirize entuufu n’okusingira ddala S6.

Eddoboozi lya Mabirizi okuva ku Bukedde