Kyaddaki sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga azzeemu okuwangula okuddamu okutuula ku lukiiko lw’okuntikko olw’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) olwa Central Executive Committee (CEC).

Kadaga awangudde Persis Namuganza ku ky’okumyuka ssentebbe wa NRM owookubiri.

Okusinzira ku ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM, Dr Tanga Odoi, Kadaga afunye obululu 6,776 ate Namuganza 3,882.

Kadaga ye mubaka omukyala owe Kamuli ate Namuganza wa Bukhono mu disitulikiti y’e Namutumba nga bonna bava mu bitundu bya Busoga.

Wabula tukuletedde ensonga 10 eziyinza okuba nga zavuddeko Kadaga okuwangula Namuganza.

1 – Ensonga z’abantu. Kadaga avuddeyo nnyo ku nsonga z’abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli okuyambako abaana abawala okusoma, okulwanyisa eby’okukomola abaana abawala, okuyamba abantu abali mu bwetaavu ate mukyala mwetowaze eri abantu ab’enjawulo.

2 – Kadaga asobodde okuyamba Gavumenti okutambuza pulogulaamu zzaayo okusinga ku Namuganza. Nga sipiika wa Palamenti, asobodde okuyamba Gavumenti okufuna ensimbi nga ziyita mu Palamenti, okutuukiriza ebiruubirirwa eri bannayuganda.

3 – Okuvuma. Mu Kampeyini mu kibiina kya NRM, Minisita Namuganza abadde akulembeza ebigambo ebiweebuula Kadaga nti mukyala mukadde, talina kyakoledde kibiina era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki abalonzi mu lukiiko lwa NEC bagaanye okumulonda.

4 – Kadaga abadde alina obuwagizi mu babaka ba Palamenti okusinga Namuganza. Nga tugenda mu kulonda kwa 2021, Palamenti yasobodde okuteekawo konsituwensi empya 47, ekiraga nti ababaka bangi balina esuubi okudda mu Palamenti nga besimbyewo mu konsituwensi empya. Kigambibwa ababaka bangi balina obwesige mu Kadaga era y’emu ku nsonga lwaki bazeemu okumulonda n’okumunoonyeza akalulu.

5 – Mu kulonda kuno, Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa, abadde muwagizi wa Namuganza era yavaayo nagamba nti Kadaga abadde alemesa entekateeka za NRM era balina okumuggya mu lukiiko lwa CEC kuba alina enkwe. Wabula agava mu Palamenti galaga nti bangi ku bannakibiina kya NRM bakoowa Nankabirwa era okuvaayo okuwagira Namuganza, kiyinza okuba kyalemesezza bannakibiina okumulonda ne basalawo okudda ku Kadaga.

6 – Okutambula eggwanga lyonna. Mu Kampeyini mu kibiina kya NRM, Kadaga asobodde okutambula eggwanga lyonna ng’anoonya akalulu. Agamba nti asobodde okutegeera ebizibu ebiruma abantu era yasuubiza okukola ku nsonga zaabwe singa alondebwa okudda mu CEC. Kigambibwa abalonzi bazzeemu okulonda Kadaga nga balina esuubi nti alina obusoobozi okukola ku nsonga zaabwe okusinga Namuganza.

7 – Enkolagana ne Museveni. Wadde Namuganza Minisita wa Pulezidenti Museveni ku nsonga z’ettaka, Kadaga agamba nti alina enkolagana ey’enjawulo ne Mukulu Museveni. Enkolagana n’omukulembeze w’eggwanga, eyinza okuba emu ku nsonga lwaki abalonzi bazzeemu okwesiga Kadaga mu lukiiko lwa CEC.

8 – Obumanyirivu. Kadaga mukyala alina obumanyirivu mu nsonga ez’enjawulo omuli ebyobufuzi, amateeka, obuwereza mu bantu okusinga Namuganza era eyinza okuba emu ku nsonga lwaki abalonzi, bazzeemu okumusindika mu CEC.

9 – Okukolagana n’oludda oluvuganya. Wadde Kadaga mukyala wa NRM, naye ab’oludda oluvuganya bamuyambyeko nnyo mu kunoonya akalulu kuba akolagana bulungi nabo, bagamba nti ye mukyala omutuufu agwanidde okutuula mu lukiiko lwa CEC, okulaga Gavumenti ebikyamu ebigenda mu maaso mu ggwanga.

10 – Okusika omuguwa mu Palamenti. Kigambibwa obutakaanya wakati wa Kadaga n’omumyuka we Jacob Oulanyah kimwongedde ettutumu mu bantu n’okulaga nti ye mukyala wanjawulo, asobodde n’okufukamizza omusajja Oulanyah,